
Bannakibiina kya NRM e Mukono balayidde nti bbo ssi bakuwa eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi buwagizi mu kitundu kino.
Bano abakulembeddwamu Ssentebbe wa disitulikiti ye Mukono Francis Lukooya Mukoome balangiridde kawefube w’okutalaaga amagombolola gonna nga balaga obubi bwa Mbabazi eri abantu era tebagala abeeko yadde olukungaana lwakuba e Mukono.
Lukooya abadde ayogerera mu lukagaana lw’abakyala ba NRM mu kibuga Mukono .
Ategeezezza nti Mbabazi yefaako yekka na ba maka ge, nti alina ekigendererwa eky’okwawuza mu bululu bwa NRM bw’anesimbawo kululwe, ekyandiviirako ba Besigye okuwangula.