Bya Francis Mugerwa
Ekirwadde kya Cholera kyakatta abantu 29 mu district ye Hoima okusinziira ku batwala ebyobulamu.
wiiki ewedde ekirwadde kino kyakaksibwa mu banoonyi bibubudamu banansi be gwanga lya Democratic Republic ya Congo abali mu nkambi ye Kyangwali.
Ku bantu 962 abaterezebwa okubeera ne Cholera, Dr Joseph Ruyonga, akulira ebyobulamu mu district ye Hoima atagezeza nti 29 bafudde.
cholera ali mu nkambi ye Kyangwali nemu byalo okuli Sebagoro, Kyehoro, Kaiso, Nkondo ebisangibwa mu gombolola ye Kabwooya.
Gavumenti etaddewo enkambi eyenjawulo e Kyangwali nemu ye Kyaka okujanjaba ekirwadde kino.
