Amawulire
Omusiraamu omulala attiddwa
Waliwo omukulembeze w’abayisiraamu omulala attiddwa mu ngeri etategerekeka
Shiek Hajji Muha Sebugwaawo attiddwa ekibinja ky’abagoba ba bodaboda bw’abadde agenze ewa Muganda we okufuna ku nsimbi okwejjanjabisa
Muganda w’omugenzi Haruna Jagwe agamba nti omugenze amukubidde ng’asaba amutaase kubanga abadde afunye obuzibu oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya n’owa bodaboda abadde amusaabaza.
Kigambibwa okuba ng’obuzibu buvudde ku wa bodaboda gw’akozesezza okugaana emitwaalo 3 gy’abadde amuwadde era wano ayise banne nebatandika okukuba seeka ono okutuuka lw’afudde
Sheikh Sebuggwaawo abadde asomesa eddiini ku muzikiti wa kampala mukadde afiiridde ku myaka 52 ng’alese abaana mukaaga
Ono era abadde muyizzi wa bululu bwa NRM ng’amakanda agasimbye Bbunga