Amawulire

Okukusa abantu- bangi babalimba

Ali Mivule

January 8th, 2015

No comments

Binoga

Abantu 125 beebakukusibwa wano munda mu ggwanga,sso nga 170 baatwalibwa ebusukka nsalo mu mawanga amalala.

Bino bifulumidde mu alipoota ekwata ku kukukusa abantu ey’omwaka oguwedde eraze nga abakukusibwa bwebaakendeera okuva ku 700 bwebaali mu 2013 nebadda ku 293 omwaka oguwedde.

Alipoota eno era elaze nga 105 bwebaasobola okutaasibwa 3 bakyalondoolwa sso nga 13 baasaddakibwa nga bbo 94 bakyakonkomaliridde mu mawanga g’ebweru.

Bw’abadde afulumya alipoota eno, omukwanaganya w’akakiiko akatekebwawo okulwanyisa okukukusa abantu Moses Binoga ategezezza emisango gino gisobodde okukendeera lwabanatu kwongera kubeera bulindaala ssaako n’amanyi agateereddwamu ebitongole ebikuuma dembe.

Anyonyodde nga abasinze okukukusibwa bwebali abaana n’abakyaala nga okusinga batwalibwa mu ggwanga lya Kenya ne Kuwait.