Amawulire
Mbabazi afunye ekkonde, abavubuka batabuse
Kkooti egobye okusaba okwakoleddwa Benjamin Alipanga ng’ono awakanya eky’okulondebwa kw’abakulembeze ba NRM abajja okuli ne ssabawandiisi.
Omulamuzi Steven Kavuma agambye nti eyawaabye talaze butya bw’ajja kukosebwa ssinga abakulu abalondebwa balayizibwa
Wabula omulamuzi yoomu agambye nti ensonga ezawebwaayo Alipanga zirimu eggumba era n’ategeeza nti zakuwulirwa mu musango omukulu
Wabula munnamateeka wa Alipanga Fred Muwema agamba nti bagenda kujulira eri abalamuzi basatu abakkooti etaputa ssemateeka kubanga bakkiriza nti ensonga zaabwe zirimu eggumba
Ebisaliddwaawo kkooti birese ng’abavubuka abawagira Mbabazi baswaakidde era bano bazinze kkooti ya ssemateeka.
Wabula bano poliisi ebatutte tebalinnya
Mu kusooka abalondebwa ku bifo mu NRM okuli n’eyasikira Mbabazi, Justine Lumumba Kasule bakakasiddwa ku bifo bino