Amawulire
Ongwen egeda mu kkooti y’ensi yonna- Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga omuyeekera Ongwen eyewaddeyo bw’alina okusindikibwa mu kkooti y’ensi yonna avunanibwe .
Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru Okello Oryem ategezezza nga pulezidenti Museveni bw’ayagala Ongwen amateeka gamulamule ku misango gyeyazza wano mu Uganda, e Congo ne mu Central African Republic.
Ategezezza nti yadde nga Uganda erina obusobozi bw’okuwozesa Ongwen, emisango gyeyazza gyali gisukka ensalo kale nga kkooti y’ensi yonna y’esaana okumulamula wabula nga asana n’asooka aletebwako wano mu ggwanga.
Kino kiddiridde abakungu ba gavumenti ya Amerika okukwaasa amagye ga UPDF ag’omukago gwa Africa Ongwen .
Omukolo gubadde mu ggwanga lya Central African Republic nga eno Ongwen abayekera ba Seleka gyebamukwasiza aba Amerika oluvanyuma lw’okwewaayo.
Omwogezi w’ekitebe kya Amerika kuno Daniel Travis akakasizza kino era n’atendereza nnyo enkolagana ennungi wakati wa gavumenti ya Amerika ne Uganda okulwanyisa abayeekera ba LRA.
Travis ategezezza nga ekituukiddwako bwekili ekikulu ennyo ku by’okwerinda by’ekitundu kino oluvanyuma lw’okukwata omu ku bayeekera ow’omutawaana.
Ategezezza nga buli omu bw’ayagala okulaba nga obwenkanya bufunibwa ku bantu abaddizibwako ebikolobero okuva eri omuyeekera ono.
Gyebuvuddeko Omwogezi w’amagye g’eggwanga Lt.Col Paddy Ankunda y’ategezezza nga Ongwen bweyetaagibwa kkooti y’ensi yonna okusoyebwa kajiojijiji w’ebibuuzo ku ttemu ly’azze akola.