Amawulire
Bannamateeka batabuse ku ssabalamuzi
Ekibiina ekigatta bannameteeka ekyaUganda Law Society kirangiridde nga bwekitagenda kwetaba mu mikolo gyakuggulawo mwaka gwa mateeka omuggya
Bano beemulugunya ku kubulawo kwa ssabalamuzi omujjuvu.
Akulira bannamateeka bano Ruth Sebatindira atandise okukunga bannamateeka bonna obutetantala kwetaba ku mikolo okulaga nti ssi basanyufu ne kya pulezidenti Museveni okulwaawo okulonda ssabalamuzi.
Omukono guno ogugenda okubaawo ku lw’okutaano gwakukulemberwaamu akola ng’amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma era nga gwakubeera ku kkooti enkulu
Ekifo kya ssabalamuzi kimaze ebbanga nga tekiriimu Muntu mukakase okuva eyali ssabalamuzi Benjamin Odoki lweyawummula.