Amawulire
Abayizi abalala batikkidwa, Nalulungi yoomu ku bo
Senkulu w’ettendekero ekkulu erye Makerere Prof Mondo Kagonyera obuli bw’enguzi obukudde ejjembe mu ggwanga abutadde ku butaba na mpisa.
Nga ayogera ku matikkira g’omulundi ogwe 65, Prof Kagonyera ategezezza nga olutalo okulwanyisa amayisa amabi bwelulekeddwa eri gavumenti sso nga abazadde basaana okubuulirira abaana baabwe ku kabi akali mu kulya enguzi ssi kwemalira ku byakusoma byokka.
Ono era asesezza abetabye ku mukolo guno bw’abalagidde okusirika nga ayogera okussa ekitiibwa mu lunaku luno.
Mungeri yeemu amyuka Kyansala w’ettendekero lino Edward Ddumba asabye enkolagana enungi okweyongera wakati w’ettendekero ekkulu erye Makerere n’aba MUBS e Nakawa.
Abayizi ba MUBS batikiddwa zi Degree, zi dipulooma ne PHDS mu masomo ag’enjawulo nga era Nalulungi wa Uganda Leah Kalanguka y’omu ku batikiddwa.