Amawulire
Abasomesa batabuse- balumbye minisita
Abasomesa wansi w’ekibiina kyabwe ekibataba balumbye ekitebe kya minisitule y’ebyenjigiriza okubanja ensimbi zaabwe ez’ebibiina by’obwegassi.
W’owulirira bino nga batuuse ku kitebe kino okumanya lwaki tebaweebwa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya
Abasomesa ne minisitule bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 obwaweebwa pulezidenti Museveni okugenda eri abasomesa mu bibiiba byawe eby’obwegassi nga minisitule eyagala ziyite mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya micro finance support Centre abasomesa kyabattakiriziganya nakyo.
Nga bakulembeddwamu ssabawandiisi waabwe James Tweheyo bawerekeddwako poliisi okutuuka ku kitebe kino nga era kati basisinkanyemu minisita avunanyizibwa ku matendekero aggawaggulu Chrizistom Muyingo okwongera okumumunyamumunya mu nsonga eno.
Gyebuvuddeko Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa bano James Tweheyo y’ategezezza nti bbo baagala kimu , nsimbi zaabwe nga era singa tebazifuna akediimo kaabwe kaakugenda mu maaso mu kuggulawo ttaamu esooka nga 2 February.