Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Mitijera mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwomu ku munaabwe okunywa waragi n’amukanula.
Omugenzi ategerekese nga Paul Kasujjanga era kigambibwa okuba nti akawungeezi akayise y’anywedde omwenge nga asiibula ensi okukkakana nga era agisibudde.
Abatuuze bagamba nti Kasujja abadde mutamiivu walulango nga era era mukuwunzika endeku tawunyikamu wabula nga bwebagamba nti kitta akimanyidde enyanja etta muvubi, naye enkangaali ono emukanudde.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika dyo bw’eggwanga Ibin Ssenkumbi akakasizza okufa kw’omusajja ono n;ategeeza nga okunonyerea bwekukyagenda mu maaso wabula n’alabula abatobya emimiro obutageza kukongojja mumbejja namaalwa nga tebalina kyebalidde.