Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Mitijera mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwomu ku munaabwe okunywa waragi n’amukanula.
Omugenzi ategerekese nga Paul Kasujjanga era kigambibwa okuba nti akawungeezi akayise y’anywedde omwenge nga asiibula ensi okukkakana nga era agisibudde.
Abatuuze bagamba nti Kasujja abadde mutamiivu walulango nga era era mukuwunzika endeku tawunyikamu wabula nga bwebagamba nti kitta akimanyidde enyanja…
