Ebyobulamu
Abasawo tebamala
Akakiiko akakola ku byobulamu kagaala minisitule y’ebyobulamu okujjawo natti gyeyassa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga
Akulira akakiiko kano Dr. Pius Okong ategeezezza sipiika wa palamenti nti kino kikosezza emirimu kubanga abasawo batono ate nga tebasobola kuwandiisa bapya.
Dr. Okong agamba nti amasomero g’abasawo gafulumya abayizi buli mwaka kyokka nga tebaweebwa mirimu era ekiddirira kwekwenonyeza emirimu ebweru
Ayagala wabeewo okuwandiisa abasawo nga 800 ku mitendera egitali gimu obutakosa mpereeza ya mirimu.