Amawulire
Omulala abadde ayagala okwegatta ku poliisi afudde
Abadde alina ekirooto ekyegatta ku poliisi takituukirizza bw’afudde ng’ali mu lugendo wlw’ekirooto kye
Bonaventure Ayetetse yoomu ku bakeera okugenda okwewandiisa okwegatta ku poliisi ku lw’okusatu era yali akola dduyiro n’agwa eri.
Ono yaddusibwa mu ddwaliro gy’afiridde olunaku lwaleero
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi agamba nti omugenzi yaddukako katono n’atandika okussa obubi era ekyaddirira kugwa eri
Serunjogi agamba nti okunonyereza kwebakakola kulaga nti omusajja ono yali ali ku ddagala ate ng’anywa nnyo omwenge
Omugenzi abadde musomesa mu disitulikiti ye Rakai
Ate okuddako e Gomba, omusajja atemera mu myaka nga 60 afiiridde mu luggya lwa poliisi.
Abatuuze bagamba nti ono aludde ng’alabibwa ku kitundu kino, wabula nga abadde amanyiddwako erinya limu lya kalooli nga yava Kyamuliibwa Kalungu
Aduumira poliisi y’omu kitundu Peter Byansi agambye nti okunonyereza kwebakakola kulaga nti omugenzi yafudde njala