Amawulire
Abazungu balambudde amasiro ge Kasubi
Abakungu 3 okuva mu kitongole eky’amawanga amagatte ekirabirira ebifo byobuwangwa olwaleero bakyaddeko mu masiro e Kasubi, okulaba omulimu gw’okuzimba amasiro gano wagutuuse.
Bano nga bakulembeddwamu Joseph King bagambye nti baasabibwa gavumenti ya Uganda okujja okwetegereza engeri amasiro gyegazimbibwa okulaba nga gatuukana n’omutindo.
Olunaku lw’enkya bano bakusisinkana Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’oluvanyuma bakuwandiika alipoota ku mulimu guno.
Akulira olukiiko oluzimba lwa Kasubi masiro ggwanga mujje Hajji Kaddu Kiberu agambye nti abakungu bano babawadde amagezi ag’ekikugu mu kwongera okuzimba amasiro gano.
Ye Wabula kayole Christopher Kawooya ng’ono yemuseresi omukulu agambye nti okusereka enyumba ya muzibu azaalampanga akadde kona kutandika .