Amawulire

Aba NRM abaawangulwa battudde

Ali Mivule

February 20th, 2015

No comments

Vote NRM

Bannakibiina kya NRM abasoba mu 5000 abawangulwa mu kamyuka k’omwaka 2010 battudde olutalo nga bagaala ebyava mu kunonyereza bifulumizibwe

Okunonyereza kuno kwatongozedwa eyali akulira akakiiko ka NRM ak’okulonda Prof Elijah Mushemeza ne Alhajji Moses Kigongo oluvanyuma lw’abaali besimbyeewo okulumiriza banaabwe okubba akalulu.

Abeesimbawo bano nga bakulembeddwaamu Justine Odongo bagamba nti kyannaku nti abakulu mu kibiina bazze basisinkana naye nga tebamaliriza

Odongo agamba nti bakusisinkana nga 13 omwezi okujja okwongera okuteesa ku nsonga eno.