Skip to content Skip to footer

Arirang Restaurant egaddwa lwa bucaafu

mmere

Nga omusujja gwomulubuto kyegujje gubalukewo mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo,aba KCCA basitukiddemu nebaggala ekiriiro ky’emmere ekya bakoleya ekya Arirang Restaurant.

Bano bagaddwa lwa bucaafu nga era basangiddwa n’enkoko envundu.

Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga abalambuzi baabwe ab’eby’obulamu bwebabaguddeko awatali kulabula  nebasanga nga obucaafu bufumbekedde mu ffumbiro ekiyinza okulwaza abalyayo emmere.

Aweze nga bwebakyaggala ebifo ebirala ebitatuukagana namutindo gwetagisa.

Leave a comment

0.0/5