Amawulire
Katikkiro alambuzza Obuganda amasiro nate- Bitambula
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga alambuzza Obuganda omulimu ku masiro wegutuuse
Basookedde ku ge Wamala ne badda e Kasubi era ng’eno yonna emirimu gizzeemu okutambula
Katikkiro ategeezezza nga bwebaali besiba olw’ebyetaagisa ebitali bimu ebitabaddeemu kyokka nga kati buli kimu kitambula
Katikkiro agambye nti langi okuva e Germany yali yasiba buli kimu kyokka nga kati yatuuse.
Agambye nti bagaala amasiro gano gaggwe nga gaweesa ekitiibwa nga y’ensonga lwaki bagateekako kyonna ekyetaagisa okwongera okugafuula amatiribona
Katikkiro era asiimye ab’enda ya nakalaama olw’okuwaayo ettoofaali erituusizza omulimu weguli kyokka era n’abakunga okwongera okuwaayo
Yye akulira abakulu b’ebika Kayiira Gajuule eno gy’asinzidde n’alaga obwenyamivu olw’abantu abesenzezza ku ttaka ly’amasiro ga bassekabaka naddala e Wamala era n’asaba Katikkiro nti bbugwe alowoozebweeko.