Amawulire
E Jjinja lumubetense
Omusajja ow’emyaka 50 abetenteddwa ejinja erimusanze wansi mu mpuku gy’abadde awumulidde .
Enjego eno ebadde ku lusozi lwa Kadam mu disitulikiti ye Nakapiripirit nga eno omugenzi Lokori Chogar ekiyinja gyekimusanze.
Aduumira poliisi ye Nakapiripirit Cox Apamaku ategezezza nga bwebasobodde okutaasa abaana beyagenze nabo naye omugenzi baatuuse kikeerezi.