Amawulire
Abalina “Typhoid” baweze 1000- Ebizimbe biggaddwa
Ekirwadde ky’omusujja gwomubyenda ekya typhoid kyongedde okuwanika amatanga mu ggwanga nga kati abaakakirwala mu Kampala wokka baweze 1000.
Akulira eby’obulamu mu KCCA David Seruka ategezezza nti kati abalwadde bajanjabibwa mu malwaliro ga KCCA okwetolola Kampala.
Seruka agamba kati bafumvubidde okulaba ga balinya omusujja guno ku nfeete n’okufuna engeri y’okulwanyisa amakubo mwekiyita okukwata abantu.
Ebyonga bikyaali bityo nanayini kizimbe kya Qualicel bus terminal Drake Lubega ategezezza nga bwebamukkirizza okuggulawo ekizimbe kino oluvanyuma lw’okukiggala n’ebirala olw’obucaafu.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero,Lubega ategezezza nga bw’atadde omukono ku ndagaano ne KCCA Emukkiriza okuggula ekizimbe kino ku kakawakulizo nti agenda kulongoosamu.
Mungeri yeemu KCCA esisinkanyemu esisisnkanyemu bananyini bizimbe abalala okuli Tom Kitandwe ow’ekizimbe kya Galiraaya ne John Bosco Muwonge okusala amagezi ku nsonga y’obuyonjo ku bizimbe bino.
Wabula amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga bwebatannakiriza Lubega kuggulawo kizimbe kye okutuusa nta atuukirizza ebyetagisa okuva eri ekitongole kyabwe eky’ebyobulamu.