Bya Ben Jumbe.
Akakiiiko ka palamenti akakola ku by’empisa z’ababaka, kategeezeza nga bwekaamala edda okukola alipoota ku neeyisa y’omubaka era minister w’ebyetaka persisi Namuganz, kko ne speaker Rebecca Kadaga, nga bano baludde ebanga nga bayombagana.
Twogedeko n’amyuka ssentebe w’akakiiko kano Abas Agaba nagamba nti alipoota eno baludde nga bagirina, wabula balinze kuweebwa kadde mu palementi bajanjule.
Kinajukirrwa nti Namuganza yeyatandikiriiza okusoomoza sipiika nga agamba nti alinga ayagala okumulemesa obukulembeze bwe Bukono wano mu Namutumba , okukakana nga bayombye, olwo parliament nebiyingiramu