Amawulire

Ensonga z’abasawo okukuba ekyeyo zituuse mu palamenti

Ali Mivule

April 8th, 2015

No comments

Kadaga worried

Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alaze okwenyamira olwa gavumenti okulemererwa okunyonyola lwaki yesibiridde okuwereeza abasawo ebweru w’eggwanga okukuba ekyeyo

Kadaga agamba nti bawandiikira dda minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okubanyonyola ekigenda mu maaso kyokka nga kati guyise ne mu mwezi nga tebalabikako

Kadaga agamba nti ensonga eno agenda kufuba okulaba nti etwalibwa mu palamenti ya wamu ababaka bagikubaganyeeko ebirowoozo kubanga nkulu.

Ono abadde ayanukula bannakyewa abaliko ekiwandiiko kyebamukwasizza nga bawakanya enteekateeka ya gavumenti okusindika abasawo mu ggwanga lya Trinidad and Tobago

She was responding to issues raised by members of Bannakyeewa bano wansi bw’omukago ogulwanyisa okufa kwa bamaama mu sanya nga bakulembeddwaamu Kateera Muhwezi bategeezezza Uganda terina basawo bamala kati nga kyewunyisa nti ate eyagala kusindika b’erinawo ebweru.

Muhwezi agamba nti era bawakanyiza ddala eky’okusindika abazaalisa 100 ebweru ng’eggwanga likyafiirwa ba maama 17 buli mwaka.

Gavumenti ekyalemedde ku kusindika abasawo ku kyeeyo ng’egamba nti kino tekisobola kukosa mpereeza ya mirimu.