Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atenderezza nyo omugenzi Wilfred Murumba nga ono y’abadde munnamateeka w’ekibiina kya FDC nga omuntu alwaniridde enyo obwenkanya.
Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku ekeleziya ya Christ the king amakya galeero, Besigye ategezezza nga omugenzi Murumba bw;abadde ayimirira wo nyo ku lw’amazima nga era abadde teyekiriranye ku nsonga ez’enjawulo era abadde alwanirira ekyo kyakkiririzamu.
Besigye aweze okulwanirira ebyo omugenzi by’alese tatuukirizza.
Mungeri yeemu loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago ategezezza nga omugenzi Murumba bw’agenda okujjukirwa nga omuntu alwaniridde enfuga y’ebyamateeka.
Omugenzi Wilfred Murumba y’afudde olunaku lw’eggulo oluvanyuma lw’okufuna obuzibu mu lubuto.