Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basabye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu okukangavvula ababaka ba palamenti abebulankanya entakera mu ntuula za palamenti.
Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba ababaka bano basasulwa omusimbi mungi kale nga basaana okuweereza eggwanga awatali kwebulankanya.
Ono aweze nga bwebagenda okusaba palamenti ebawe empapula ababaka kwebewandiisiza nga bakiise bazitwalire abalonzi baabwe balabe bebatuma okubateeseza engeri gyebefaako bokka nga bebulankanya.
Bino bibadde mu lukungaana lw’abamawulire ku nsonga y’ababaka okwebulankanya ate nebasasulwa obutitimbi bw’ensimbi.