Emikolo gy’okukuza olunaku lw’abakozi gyikyagenda mu maaso mu district ye Kisoro ku somero lya Mutorere Primary School.
Ye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atandise okwogerako eri abagenyi abenjawulo omuli minister Muruli Mukasa, Karoro Okurut, Gen. Aronda Nyakairima ne ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe.
Ye ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abakozi ekya Central Organisation of Free Trade Unions Sam Lyomoki awagidde eky’abakozi okuba n’ababaka mu lukiiko lw’egganga olukulu.
Lyomoki agambye nti ababaka bano nganaye mwomutwalidde bakoze kinene, okutumbula embeera z’abakozi.
Ate wano ku muliraano mu ggwanga lya Kenya, omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta alangiridde nga gavumenti bweyongezza omusaala ogusookerwako n’ebitundu 12%.
Kenyatta era asuubizza okwongera okutumbula embeera abakozi gyebakoleramu.