Enkumi n’enkumi z’abakulisitu wano mu Kampala baakutambula nga bagoberera ekkubo eryayitibwamu abajulizi nga bagenda okutibwa ku biragiro bya ssekabaka Mwanga.
Bano baakutandikira Munyonyo ewatibwa Andrew Kaggwa ne Donozio Ssebugwawo olwo beyongereyo e Kyamula nga wano posiano Ngondwe weyatibwe ,boolekere mu katale ka St Balikudembe ewatibwa Balikuddembe bakomekereze ku kanisa ya St Matia Mulumba ku Old Kampala ewatibwa Matia Mulumba was killed.
Akulira akigo ky’e Namugongo Father Joseph Mukasa Muwonge agamba nti baakukomekereza olugendo luno olunaku lw’enkya okuva ku Old Kampala okudda e Namugongo nga era baakubeera n’ekitambiro ky’emisa.