E soroti omukazi bamutemyeko omukono oluvanyuma lw’abasawo abekikwangala okumukuba eddagala effu n’asanyalala omukono .
Janet Aliano owo kukyalo Arusi nga aeza emyaka 54 y’agenda mu ddwaliro mu katawuni ke Takum okumujanjaba omusajja gw’ensiri, omusawo eyali mu kalwaliro Justine Elangota n’amukuba empiso ku Mukono okuva olwo negusasnyalala okutuusa lwebagutemyeko.
Okusinziira ku musawo mu ddwaliro ekkulu e Soroti Dr. Margaret Ajiko omukyala ono baagendac okumubaleetera nga omukono gwe ogwa ddyo gufudde olw’eddagala eryamukubibwa nga balina kugutemako.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kyoga Juma Hassan Nyene agamba Justine Elangot baamukutte dda era wakutwalibwa mu kkooti avunanibwe.
Agamba Elangot teyamalak nakusoma nga abadde akola ne mwanyina mu kalwaliro mu kitundu kino.