Skip to content Skip to footer

Abalonzi tebamanyi kyakukola

Ng’ebula ennaku bbiri zokka okulonda kukwatibwe , akakiiko akalondesa kalumbiddwa olw’obutakola kimala kusomesa bantu bikwata ku kulonda

Alipoota efulumiziddwa bannakyeewa eraga nti abantu bokka abamanyi ebigenda mu maaso ku kulonda baweza ebitundu 26 ku kikumi.

Akulira omukago guno Richard Ssewakiryanga agamba nti abantu bangi tebamanyi wakulondera ate abalala tebamanyi bikwata ku kulonda okutwaliza awamu

Ssewakiryanga agamba nti kino kyakulemesa abantu bangi okulonda kubanga tebamanyi kyakukola.

Asabye akakiiko akalondesa okukozesa obudde obusigaddeyo okubangula abantu ku kigenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5