Abatuuze mu zooni ye Kisugu central wano e Namuwongo baguddemu entiisa omuvubuka bw’akkakkanye ku kitaawe n’amutemateema okukkakkana ng’amusse.
Omuvubuka ono ategerekeseeko erya Kazungu kigambibwa nti akkakkanye ku kitaawe James Kizza namutta ng’abadde ayagala okumubbako ssente eziweza akakadde kamu mu emitwalo nsanvu
Kigambibwa nti ensimbi zino Kizza abadde yakazifuna okuva mu kibiina mwabadde atereka era ng’abadde agenda kuzizimbamu kikomera ekya nyumba.
Ye Ssentebe w’ekitundu kino Sam Kato, agambye nti omuvubaka ono abadde wamutawaana ku kitundu era ngayagezako dda okutta kitaawe.
Poliisi omulambo egututte okwongera okugwekebejja wamu n’okunonyereza.