Poliisi e Kasese ekutte omusajja agambibwa okukulemberamu okutta eyali amyuka ssabawaabi wa gavumenti Joan Kagezi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono ng’agamba nti bamuyooleddwa mu bikwekweto byebakola okufuuza obuzzi bw’emisango.
Enanga agambye nti omusajja ono gwebatayagala kwatuukiriza mannya bazze bamugoberera okuva Kagezi lweyafa
Omusajja ono bamukwatidde ku siteegi emanyiddwa nga Kiteso- Kamaiba gy’agezaako okudduka ng’ali ku piki ye gy’abadde avuga bukyanga ava Kampala
Omusajja ono abatuuze bagamba omusajja ono omukonzo amaze omwezi mulamba ng’avuga piki ye era ng’emirimu agikakkalabiza mu kibuga kye Kasese.
Abatuuze bagamba nti omusajja ono alina enkovu ku ttama era ng’alina n’endali kyokka nga babadde tebakirowoozangako nti ayinza okuba omuzzi w’emisango