Amawulire
Ebivudde mu kukebera emirambo bifulumye
Ebyava mu kukebera obunyama n’omusaayi gw’abantu ababiri abafiira mu muliro gwe Namungoona mu nkola ya DNA bifulumye .
Bano beebamu ku 29 abafirawo mu muliro oluvanyuma lw’ekimotoka ky’amafuta okukwata omuliro naye nokutuusa kati babadde bakyabuliddwaako abaabwe.
Omusawo wa police eyekebejja emirambo Dr Moses Byaruhanga, agamba ebivuddeyo biraga nga abantu ababiri abategeeza nga bwebafiibwako abantu baabwe mu muliro guno, bwekiri ekitufu nti ddala bano ba nganda zaabwe.
Agamba kati balinze ba nganda bano okudduukirira emirambo gyaabwe oluvanyuma lw’okukakasa nti bebanyini gyo.
Omuwendo gw’abantu abakafira mu muliro guno bali 42 nga 7 bakyagyanjabibwa mu ddwaliro e Mulago.