Skip to content Skip to footer

Emirambo 2 e Ssembabule

Serunjogi

Entiisa ebutikidde abatuuze mu district ye Sembabule oluvanyuma lwokugwa ku mirambo ebiri mu bitundu bibiri ebyenjawulo.

Abagenzi bategerekese nga  Moses Muhwezi omutueze we Kabale mu gombolola ye  Lwebitakuli nga ssentebe w’ekyalo kino Godfrey Tumwekwase ategezezza nga omulambo gwono bwegusangiddwa nga gugangalamye kumpi n’edduuka ly’omutuuze ategerekese nga Julius Kabigo.

Agamba omulambo guno tegusangiddwako kiwundu kyonna yadde ekinubule nga era weyafiiridde tewalabiddwa nti waabaddewo ensiitano yonna kale nga teyatemuddwa awo.

Ye  Jane Namanda asangiddwa nga yafiiridde mu nnimiro ye era nga mugandawe John Ssemanda abadde agenze okumukyalira yamuguddeko nga lwakazizza dda .

Leave a comment

0.0/5