Skip to content Skip to footer

Entalo mu NRM zifuuse Namulanda

NRM youths meet sevo

Akakiiko akakwasisa empisa ak’ekibiina kya NRM tekannasalawo kyakukolera eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga prof, Gilbert Bukenya olw’okuwagira ow’oludda oluvuganya gavumenti  Brenda Nabukenya mu kulonda kwe Luweero okwakaggwa.

Wiiki ewedde Bukenya yakubira Nabukenya kampeyini ekimenya ssemateeka wa NRM.

Kati akola nga ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Richard Twodong agamba akakiiko kakyetegereza nsonga eno n’oluvanyuma kasalewo ekyokukolera Bukenya.

Mungeri yeemu.

Endoolito mu kibiina kya NRM ssi za kuggwawo kati.

Kati waliwo abakulembeze babavubuka abazzemu okukkatiriza nga bwebali emabega wa ssabaminister Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu 2016.

Akulira abavubuka ba NRM mu Kampala Adam Luzindana agamba kawefube w’okutabaganya abavubuka yenna akyagudde butaka nga mpaawo bibala byavuddemu.

Leave a comment

0.0/5