Poliisi ku kisaawe Entebbe ekutte amasanga agaweza kilo 740 nga gabadde gakukusibwa okutuuka mu ggwanga lya Singapore
Amasanga gano agabalirirwaano obuwumbi butaano nekitundu gawandiisibwa mu mannya ga munnayuganda akyayiggibwa
Atwala poliisi ku kisaawe Entebbe Lodovick Awita agambye nti amasanga gano gabadde malambe nga kiraga nti gabadde tegava mu yuganda nga bakugekebejja okuzuula eggwanga bwegabadde gava
Mu ngeri yeemu era ebikomo by’amasanga 100 byebikwatiddwa ng’abantu bataano bakwatiddwa okuyambako mu kunonyereza.