Pulezidenti Museveni azzeemu okulonda Col. Shaban Bantariza ng’omumyuka w’ekitebe ky’ebyamawulire ekya gavumenti ekya Media center
Kino kikakasiddwa omwogezi wa gavumenti era nga yoomu y’atwala ekitebe kino Ofwono Opondo
Bantariza yasooka okulondebwa mu mwaka gwa 2013 kyokka n’akwatibwa nga yakakolako emyezi ena era okuva olwo abadde atoba na misango gya kukozesa lukujjukujju okudibaga ensonga ku ssomero lya bannamaggye e Kyankwanzi
Wabula ono ku ntandikwa y’omwaka guno yajjibwaako emisango gyonna oluvanyuma lw’okukakasa nti tulakita gyebamusibako nti teyagula mu butuufu yali agiguze