Amawulire
Babawadde obutwa
Omuntu omu afudde abanu b’omu maka gamu bwebategedwa obutwa.
Abantu bataano beebalidde obutwa buno ng’abana bali ku bitanda bapooca.
Bino bibadde ku kyaalo Bajjo mu district ye Mukono.
Afudde mwana way aka 9 ye Eva Kisakye ng’abadde muyizi ku Mukono Junior school.
Abali obubi kuliko maama w’omugenzi Harriet Nabawesi, Ketty Nalubowa, Sylvia Namaganda, and n’omwana omulala ow’emyaka 10
Obutwa buno kigambibwa okuba nga bussiddwa mu mmere ebadde ku sigiri
Omu ku b’omu maka gao agamba nti nga bakamala okulya emmere batandise okuddukana era wayise mbale nga bonna bagudde eri bataawa
Tekinnategerekeka ani akoze ekikolwa kino ekyettima