Skip to content Skip to footer

Egy’abatujju tegigenze mu maaso

Okuwulira emisango egivunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 kugudde butaka nga kwakuddamu olunaku lw’enkya

Kiddiridde ab’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta omujulizi gwebabadde basuubira

Munnamateeka wa gavumenti omukulu Susan Okalany ategeezezza omulamuzi agubadde mu mitambo Alfonse Owiny Dollo nti omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Buganda road Francis Kobusheshe abadde n’ebizibu n’atasobola kulabikako mu kkooti.

Omulamuzi ono yeeyaliwo ng’omu ku bavunaanibwa Issa Luyima ng’akola ekiwandiiko kye kkooti ky’ayagala ekozese

Abavunaanibwa balina emisango 76 egy’obutemu, 10 gyakugezaako kutta bantu ate esatu gya butujju.

Leave a comment

0.0/5