
Eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya kyaddaaki alagiridde mu butongole nga bw’avudde mu kibiina kya NRM.
Bukenya agamba nti kati wakutandikawo ekibiina kye ekya Party for national union.
Bukenya okuvaayo bw’ati abadde ayogerako nebannamawulire oluvanyuma lw’olukungaana lw’abavuganya gavumenti olutudde wali e Ntinda.
Bukenya agamba yayabulidde NRM okuwa ekibiina kye ekipya obudde n’okulaba nga wabaawo enkyukakyuka mu bukulembeze bw’eggwanga.
Bukenya yayawukana ne pulezidenti Museveni oluvanyuma lw’okutegeeza nti y’ava dda ku byabatwala mu nsiko .