Ebyobulamu
Mu Buyindi teri kabuyonjo
Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti abakyala abeeyamba mu bifo by’olukale batera okuzaala abatannaba kwetuuka oba okuzaala abawewefu okusingako bannaabwe abagenda mu kabuyonjo.
Abanonyereza batunuulidde abakyala b’embuto 670 mu kibuga kya Buyindi ekya Orissa
Okunonyereza kwekumu kutuuse ne mu kibuga ekirala ekya Jharkhand nga mu kino nno kabuyonjo okugisanga obeera wa mukisa
Kigambibwa okuba nti abantu obukadde 500 mu Buyindi beeyamba mu bifo by’olukale olw’obutaba na zi kabuyonjo.