Abakyala enzaalwa ya Moroccco abakwatibwa olw’okwambala sikaati enyimpi bajjiddwaako emisango.
Bano bakwatibwa mwezi guwedde nga bali mu katale, abatembeeyi gyebaali bagaala okubambulira.
Okukwatibwa kw’abakyala bano kwavumirirwa nnyo okwetoolola ensi yonna nga bagamba nti kulinyirira ddembe ly’abantu
Bannamateeka abali mu 100 beewaayo okuwolererza abakyala bano era olwaleero bayimbuddwa