Ebyobulamu
Sekandi atongozezza emisinde gya kokoolo
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi atongozezza emisinde gy’okulwanyisa kokoolo egy’omwaka 2015 .
Ensimbi ezinaava mu misinde gino zakuzimba etterekero ly’omusaayi mu ddwaliro e Mengo okumalawo obuzibu bw’ebbula ly’omusaayi.
Ssentebe w’akakiiko akateekateeka emisinde gino Fred Masadde agambye nti emisinde gino gyakubeera ku kisaawe e Kololo nga 30 omwezi ogujja.
Eyakulemberamu omulimu gw’okusaba etterekero lino Emmanuel Katongole agambye nti emirundi mingi abalwadde abeetaga omusaayi okuli aba kokoolo, ab’obubenje, n’abakyala abazadde beetaaga omusaayi naye nga teguliiwo kale nga kino kijja kuyamba.