Kooti enkulu etuula e Mukono ngekubirizibwa omulamuzi Paticia
Basaza Wasswa etandise okuwulira omusango gwomusajja avunanibwa
okwokya mutabani we mu nyumba. Kabogoza David omutuuze we Naabuta e Seeta, kigambibwa yakakana ku mutabani we yekka gweyalina Kivumbi Marvin owemyaka 7 namusibira mu nyumba nagitekera omuliro nasirikka.
Bino byaliwo nga 17/09/2011 mu budde bwekiro oluvanyuma ye taata
nadduka.
Abajulizi babiri okuli abasirikale ba poliisi Myaya Ronald ne
Byamugisha Prujence abanonyereza ku musango guno bebasoose mu kooti.
Wabula mu lutuula luno omuvunanwa Kabogoza abadde alekanira wagulu nti bamuwayiriza omwana we gyali mulamu era asoma. Abajulizi bategezezza nti mu kusooka nga yakwatibwa yakiriza nti yali ayokyezza omwana we olwebizibu byeyalina, abaana be abalala okufa nomukazi okumunobako, era nomuliro yagukuma waliwo emizimu egumwetimbyeko. Omusango gwongezeddwayo nga 3rd ogwomunaana nomulamuzi ayisizza ekiragiro Kabogoza atwalibwe baddemu bamwekebejje obwongo okukakasa oba bukola
bulungi.