Skip to content Skip to footer

Abakozi mu kinyara beedimye

File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe
File Photo: Abakoozi nga bali ku gyabwe

Abakozi b’ekkolero lya sukaali erya  Kinyara sugar Works Ltd abasoba mu 600 bekalakaasizza lwambeera mbi mwebakolera.

 

Abatema ebikajjo n’abakozi abalala bategezezza nga abakulira ekkolero lino bwebatafa ku byabulamu byabwe, omusaala mutono ddala sso nga n’amabaluwa agabakakasa ku mirimu tegakolebwangako.

 

Aduumira poliisi mu bitundu bino  Charles Ssebambulidde ategezezza nga poliisi bw’eyiriddwa okulaba nga bano tebakola ffujjo lyonna.

 

Okwekalakaasa kuno wekujidde nga kumpi ssabbiiti 2 zokka zezakayita nga abakozi b’ekkolero lino 12 kyebaggye bafiire mu kabenje oluvanyuma lwa kiloole kwebaali batambulira okwerindiggula ennume y’ekigwo ku luguudo lwe Masindi .

Leave a comment

0.0/5