
Abakozi b’ekkolero lya sukaali erya Kinyara sugar Works Ltd abasoba mu 600 bekalakaasizza lwambeera mbi mwebakolera.
Abatema ebikajjo n’abakozi abalala bategezezza nga abakulira ekkolero lino bwebatafa ku byabulamu byabwe, omusaala mutono ddala sso nga n’amabaluwa agabakakasa ku mirimu tegakolebwangako.
Aduumira poliisi mu bitundu bino Charles Ssebambulidde ategezezza nga poliisi bw’eyiriddwa okulaba nga bano tebakola ffujjo lyonna.
Okwekalakaasa kuno wekujidde nga kumpi ssabbiiti 2 zokka zezakayita nga abakozi b’ekkolero lino 12 kyebaggye bafiire mu kabenje oluvanyuma lwa kiloole kwebaali batambulira okwerindiggula ennume y’ekigwo ku luguudo lwe Masindi .