Skip to content Skip to footer

Egambibwa okuba bbomu esse omwana

Omuntu omu afiriddewo, n’abalala 3 nebabuuka n’ebisago eby’amaanyi,ekintu ekyefananyiriza bbomu bwekitulikidde mu ffumbiro ku kyalo ekimanyiddwa nga Kirolo ku luguudo lwe Ssemuto.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti ekintu kino kyandiba nga kyalondebwa omwana eyakitutte mu ffumbiro era bwekisemberedde omuliro olwo ne kibwatuka.

Omulambo gw’omwana gukutuseemu ebitundu 2 ate n’abalumiziddwa tebanafuna bujanjabi.

Watufunidde amawulire gano nga poliisi tenabakutuuka okutwala omulambo .

Leave a comment

0.0/5