
Bananyini maduuka ku kizimbe kya Uganda House bakonkomadde oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okuggala ekizimbe kino.
Bangi bali wabweru bibasobedde.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga abatwala ekizimbe kino bwebalemereddwa okukilongoosa sso nga n’okutumbula eby’obuyonjo bikyaganye.
Omusasi waffe shamim Nateebwa y’alina ebisingawo.