
Ekitongole kya KCCA kiweze ebbaala ya Katikati okuddamu okutegeka ekivvulu kyonna , nga bagamba nti eno eri kumpi n’eddwaliro lye Naggulu , kale nga kino kiteeka abalwade mu katyabaga
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba ategezezza nga bwebawandikidde dda abaddukanya ebbaala eno ebbaluwa nga babategeeza ku nsonga eno.
Ono ategezezza nga bwebagenda okufulumya olukalala lw’ebifo ebirala ebiwereddwa okutegeka ebivvulu.