
Abantu babiri kikakasiddwa nti bafudde ate abalala musanvu tebamanyiddwaako mayitire oluvanyuma lw’eryaato mwebabadde batambulira okubbira.
Akabenje kano kabaddi wakati w’omwalo gwe Dolwe ne Sagit ng’eryaato eribaddeko abantu 23 likoonye olwaazi neribbira.
Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa Busoga Ashiraf Chemonges agambye nti abantu bano babadde bava Masese e Jinja nga badda dolwe e Namayingo.
Abantu 14 beebataasiddwa poliisi y’oku mazzi oluvanyuma lw’omu ku bakawonawo okubategeeza
Chemonges agambye nti eryaato lino libadde litisse akabindo nga waliwo ebidomola by’amafuta ebisoba mu 80 ebisangiddwa nga bigudde mu mazzi.
Emirambo gy’abagenzi gikuumirwa ku poliisi ye Dolwe nga bonna basajja kyokka nga tebannaba kutegerekeka bibafaako.
Bbo ba kawonawo bajjanjabwa ku kalwaliro ke Dolwe