
Abasirikaale ababadde bagoba ababbi bakubye omwana e saasi mubutanwa.
David Ssimbwa owemyaka 16 nga mutuuze we Wakiso ku kyalo Kyoga yakubidwa esaasi mukugulu abasirikaale bwebabadde bagoba ababbi wabula wabalabye nadduka.
Ono aweredwa ekitanda e Mulago nga taliko amuliko olwensonga nti ewaka teli yategedde nga bwalumizidwa nga talina siimu yonna mutwe.
Twogedeko naye nga tanalongosebwa nategezza nga anjaala bwemuluma okufa.