Skip to content Skip to footer

Museveni atabukidde abesimbyeewo

File Photo: Aba NRM Ekyankwanzi
File Photo: Aba NRM Ekyankwanzi

Nga eggwanga lyetegekera akalulu ka 2016, pulezidenti w’eggwanga era ssentebe w’ekibiina kya NRM alabudde bannakibiina be okwewala kampeyini z’okuwoggana obuwoganyi nga temuli makulu wamu n’okutiisatiisa.

Pulezidenti agamba kampeyini zirina kukuyega bantu ku bigendererwa bya NRM sso ssi kuwogana buli kiseera ekitagasa.

Awadde bannakibiina amagezi okwongera okukunga obuwagizi ku byalo, amasomero ssaako n’abantu mu bifo gyebakolera kubanga gyebasinga okumalira obudde bwabwe.

Bino pulezidenti abyogereddec mu ttabmiruka w’ekibiina akomekerezebwa olunaku olwaleero.

Olunaku olwe’eggulo pulezidenti Museveni y’akakasiddwa nga agenda okukwatira ekibiina kye bendera okuvuganya ku bwapulezidenti.

Leave a comment

0.0/5