
Poliisi etegeezezza nga bweyakutte Charles Rowmushana ng’ono y’agambibwa okusooka okufulumya ebigambibwa by’omulambo ogugambibwa okubeera ogwa Aine.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ono bagaala ababuulire gyeyajje omulammbo gweyakubye ebifananyi byeyafulumizza
Enanga alumiriza nti Aine gy’ali mulamu era nga yekwese yadde poliisi ebuuziddwa ku mulambo ogwafulumiziddwa nga gufanaana eyabuuzibwaawo Aine.
Enanga asabye Aine okwewaayo eri poliisi okukomya ebigambo ebiyitingana.
Yyo minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga erabudde abantu bakomye okuyingiza ebyobufuzi ku nsonga za Aine.
Bw’abadde ayogerako eri bannamwulire wano mu Kampala, minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Rose Akol agambye nti bakimanyidde ddala nti akageri akaseera gyekali ka byabufuzi, bangi bogera ebikankana nebyebatalinako mitwe na magulu.
Ono naye akakasizza nti poliisi ekyanoonya Aine nga waliwo n’abantu abakwatiddwa okuyambako mu kunonyereza.
Awolerezza gavumenti ku nsimbi obukadde amakumi 20 obwassibwaawo eri amanyi amayitire ga Aine ng’agamba nti kino kyaali kyetaagisa okujjawo akakunkuna.